Matthew 21:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kuddamu Yezu nti: “Tetumanyi.” Naye n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bunkoza ebyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo ne baddamu nti, “Tetumanyi!” Yesu kwe kubaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza bwe nkozesa bino.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baddamu Yesu ne bamugamba nti, “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti, “Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu ne bamuddamu nti: “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bwe nnina kukola bino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baddamu Yesu ne bagamba nti Tetumanyi. Naye n'abagamba nti Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.