Matthew 21:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kino mukiraba mutya? Waaliwo omusajja ng'alina batabani be babiri, n'agenda eri omu n'amugamba nti: ‘Mutabani, olwa leero genda okole mu mizabbibu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale mulowooza mutya ku kino? Waaliwo omusajja eyalina abaana be babiri, n’agamba omubereberye nti, ‘Genda okole mu nnimiro y’emizabbibu leero.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri; n'ajja eri ow'olubereberye, n'amugamba nti Omwana, genda okole emirimu leero mu lusuku olw'emizabbibu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri, n'agenda eri omubereberye, n'amugamba nti: ‘Mwana wange, olwaleero genda okole mu nnimiro y'emizabbibu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri; n’ajja eri ow'olubereberye, n'agamba nti Omwana, genda okole emirimu leero mu lusuku olw'emizabbibu.