Matthew 21:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'agenda eri owookubiri, n'amugamba kyenkana. Ye n'ayanukula nti: ‘Nzija kugenda, ssebo,’ naye ate n'atagenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ate kitaabwe n’agenda eri omulala n’amugamba ekintu kye kimu. Naye ye n’addamu nti, ‘Nnaagenda mukama wange.’ Naye n’atagenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ajja eri ow'okubiri, n'amugamba bw'atyo. Naye n'addamu n'agamba nti, ‘Ka ŋŋende, ssebo,’ naye n'atagenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kitaabwe era n'agenda eri owookubiri n'amulagira ekintu kye kimu. Ye n'addamu nti: ‘Ka ŋŋende, ssebo.’ Kyokka n'atagenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ajja eri ow'okubiri, n'amugamba bw'atyo. Naye n'addamu n'agamba nti Ka ŋŋende, ssebo: n'atagenda.