Matthew 21:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale ku bombi ani yakola kitaawe kye yalagira?” Ne bamugamba nti: “Omubereberye.” Yezu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti abasolooza b'omusolo ne bamalaaya bagenda okubasooka mu bwakabaka bwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale, ku bombi aliwa eyagondera kitaawe?” Ne bamuddamu nti, “Omulenzi ow’olubereberye.” Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, abasolooza b’omusolo ne bamalaaya balibasooka okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku abo bombi ani eyakola kitaawe kyayagala Ne bamuddamu nti, ‘Ow'olubereberye.’ Yesu n'abagamba nti, ‘Mazima mbagamba nti abawooza n'abenzi babasooka mmwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ani ku bombi eyakola ekyo kitaawe kye yayagala?” Ne baddamu nti: “Omubereberye.” Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti abasolooza b'omusolo ne bamalaaya babasooka mmwe okuyingira Obwakabaka bwa Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku abo bombi ani eyakola kitaawe ky'ayagala? Ne bagamba nti Ow'olubereberye. Yesu n'abagamba nti Mazima mbagamba nti abawooza n'abenzi babasooka mmwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.