Matthew 21:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Yowanna yajja gye muli ng'akutte ekkubo ery'obutuukirivu, ne mutamukkiriza; sso abasolooza b'omusolo ne bamalaaya baamukkiriza; mmwe ekyo ne bwe mwakiraba, oluvannyuma temweddamu mumukkirize.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Yokaana yajja ng’abuulira ekkubo ery’obutuukirivu naye ne mutamukkiriza. Wabula abasolooza b’omusolo ne bamalaaya baamukkiriza, newaakubadde nga mwakiraba, oluvannyuma temwenenya kumukkiririzaamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Yokaana yajja gye muli mu kkubo ery'obutuukirivu, nammwe temwamukkiriza, naye abawooza n'abenzi baamukkiriza; nammwe, bwe mwalaba bwe mutyo, era n'oluvannyuma temwenenya mulyoke mumukkirize.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Yowanne Omubatiza yajja gye muli, n'abalaga ekkubo ettuufu, ne mutamukkiriza. Naye abasolooza b'omusolo ne bamalaaya, bo baamukkiriza. Ekyo mwakiraba, naye n'oluvannyuma temwenenya mulyoke mumukkirize.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Yokaana yajja gye muli mu kkubo ery'obutuukirivu, nammwe temwamukkiriza: naye abawooza n'abenzi baamukkiriza: nammwe, bwe mwalaba bwe mutyo, n'oluvannyuma temwenenya okumukkiriza.