Matthew 21:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abatumira ate abaweereza abalala, abangi n'okusinga abaasooka, nabo ne babakola kyenkana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’abatumira abaddu abalala nga bangiko okusinga abaasooka, era nabo ne babayisa mu ngeri y’emu nga bali abaasooka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atuma nate abaddu abalala bangi okusinga ab'olubereberye; ne baabakola nabo bwe batyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayongera okutuma abaddu abalala bangi okusinga ab'olubereberye. Era ne babakola ekintu kye kimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuma nate abaddu abalala bangi okusinga ab'olubereberye: ne babakola nabo bwe batyo.