Matthew 21:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma n'abatumira mutabani we, ng'agamba nti: ‘Omwana wange banaamutya.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma n’abatumira mutabani we, ng’alowooza nti, ‘Bajja kumussaamu ekitiibwa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma n'abatumira omwana we, ng'agamba nti, ‘Banaawulira omwana wange.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma n'abatumira omwana we ng'agamba nti: ‘Omwana wange banaamussaamu ekitiibwa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma n'abatumira omwana we, ng'agamba nti Banaawulira omwana wange.