Matthew 21:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu bw'alijja, abalimi abo alibakola atya?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nannyini nnimiro y’emizabbibu bw’alikomawo alibakola atya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, mukama w'olusuku olw'emizabbibu bw'alijja, alibakola atya abalimi abo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu bw'alijja, alikola atya abapangisa abo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, mukama w'olusuku olw'emizabbibu bw'alijja, alibakola atya abalimi abo?