Matthew 21:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamugamba nti: “Bakafulu abo ababi alibazikiriza, ennimiro ye ey'emizabbibu n'agikwasa abalimi abalala, abalimuwa ebibala mu budde bwabyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Abantu abo ababi bwe batyo alibazikiririza ddala, ennimiro y’emizabbibu n’agipangisa abalimi abalala abanaamuwanga ebibala mu ntuuko zaabyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuddamu nti, “Abo ababi alibazikiriza bubi, naye olusuku olw'emizabbibu alirusigira abalimi abalala, abanaamuweerezanga ebibala byamu mu mwaka gwabyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuddamu nti: “Ababi abo alibazikiririza ddala, era ennimiro y'emizabbibu aligissaamu abapangisa abalala, abanaamuwanga ebibala mu kiseera ekituufu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Abo ababi alibazikiriza bubi; naye olusuku olw'emizabbibu alirusigira abalimi abalala, abanaamuweerezanga ebibala byamu mu mwaka gwabyo.