Matthew 21:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'abagamba nti: “Temusomanga mu Biwandiiko nti: “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lyafuuka lukulwe mu nsonda; ekyo Omukama ye yakikola, kya kyewuunyo mu maaso gaffe’?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’ababuuza nti, “Temusomanga ku Kyawandiikibwa kino nti, “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. Kino kyava eri Mukama era kya kyewuunyo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba nti, “Temusomangako mu byawandiikibwa nti,” “‘Ejjinja abazimbi lye baagaana’” “ ‘Lye lyafuuka omutwe gw'ensonda;’” “‘Kino kyava eri Mukama,’” “‘Era kya kitalo mu maaso gaffe?’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Temusomangako ekyo ebyawandiikibwa kye bigamba? ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro. Ekyo Mukama ye yakikola, ne tukiraba, ne tukyewuunya.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abagamba nti Temusomangako mu byawandiikibwa nti Ejjinja abazimbi lye baagaana Lye lyafuuka omutwe gw'ensonda: Kino kyava eri Mukama, Era kya kitalo mu maaso gaffe?