Matthew 21:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe baanoonya okumukwata, ne batya ebibiina, kubanga abantu baali bamutwala ng'omulanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baagala bamukwate, naye ne batya ekibiina, kubanga abantu Yesu baamukkiriza, nga nnabbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo bwe baali baagala okukwata Yesu, ne batya ebibiina, kubanga byamulowooza okuba nnabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagezaako okumukwata, naye ne batya ekibiina ky'abantu, kubanga kyali kimanyi nti Yesu mulanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo bwe baali baagala okumukwata, ne batya ebibiina, kubanga byamulowooza okuba nnabbi.