Matthew 21:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibiina ebyali bimukulembeddemu n'ebyo ebyali bimugoberera ne biyoogaana nti: “Hosanna eri Omwana wa Dawudi! Agulumizibwe oyo ajja mu linnya ly'Omukama! Hosanna waggulu eyo!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibiina ebyamukulembera, n’ebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” “Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.” “Ozaana waggulu ennyo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibiina ebyamukulembera, n'ebyo ebyava emabega, ne byogerera waggulu, ne bigamba nti, “Ozaana eri omwana wa Dawudi! Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama! Ozaana waggulu mu ggulu!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abangi abaali bamukulembedde, era n'abo abaali bava emabega, ne baleekaana nti: “Omuzzukulu wa Dawudi, atenderezebwe! Ajja mu linnya lya Mukama aweereddwa omukisa! Mukama ali mu ggulu atenderezebwe!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibiina ebyamukulembera, n'ebyo ebyava ennyuma ne byogerera waggulu, ne bigamba nti Ozaana eri omwana wa Dawudi: Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama: Ozaana waggulu mu ggulu.