Matthew 22:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti: ‘Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule ebweru mu kizikiza, eyo awaliba okukaaba n'okuluma obujiji’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo kabaka n’alagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono n’amagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba n’okuluma obujiji.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti, “Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule mu kizikiza eky'ebweru; mwe muliba okukaaba n'okulumwa obujiji.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'agamba abaweereza nti: ‘Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule ebweru mu kizikiza, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule mu kizikiza eky'ebweru; mwe muliba okukaaba n'okuluma obujiji.