Matthew 22:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamusindikira abayigirizwa baabwe wamu n'ab'ekibiina kya Erode, nga bagamba nti: “Muyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima era ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda, ate nga teweeguya muntu, kubanga obukulu bw'omuntu si bw'otunuulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamutumira abayigirizwa baabwe awamu n’Abakerodiyaani nga bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oli mulungi, era oyigiriza mazima awatali kutya muntu yenna, kubanga tososola mu bantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamutumira abayigirizwa baabwe, wamu n'Abakerodiyaani, ne bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima, era ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda, so tokolerera kusiimibwa muntu yenna; kubanga tososola mu bantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamutumira abayigirizwa baabwe, wamu n'abawagizi ba Herode, ne bagamba nti: “Muyigiriza, tumanyi nga ggwe oli wa mazima, era abantu obayigiriza mu mazima ebyo Katonda by'ayagala bakole. Era tokolerera kusiimibwa bantu, kubanga bonna obayisa mu ngeri ye emu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamutumira abayigirizwa baabwe, wamu n'Abakerodiyaani, ne bagamba nti Omuyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima, era ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda, so ebigambo by'omuntu yenna tobissaako mwoyo: kubanga tososola mu bantu.