Matthew 22:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamugamba nti: “Bya Kayisari.” N'abagamba nti: “Awo nno ebya Kayisari mubiddize Kayisari, n'ebya Katonda mubiddize Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamugamba nti, “Bya Kayisaali.” Awo Yesu n'abagamba nti, “Kale musasule Kayisaali ebya Kayisaali; ne Katonda ebya Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuddamu nti: “Bya Kayisaari.” Awo Yesu n'abagamba nti: “Kale nno ebya Kayisaari mubiwe Kayisaari, n'ebya Katonda mubiwe Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Bya Kayisaali. Awo n'abagamba nti Kale musasule Kayisaali ebya Kayisaali; ne Katonda ebya Katonda.