Matthew 22:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muyigiriza, Musa yagamba nti: ‘Omuntu bw'afanga nga talina baana, muganda we awasanga mukazi we n'asibusiza muganda we ezzadde.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuyigiriza Musa yagamba nti, ‘Singa omusajja afa nga tazadde mwana, muganda w’omufu awase nnamwandu oyo azaalire muganda we abaana.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti, “Omuyigiriza, Musa yagamba nti, ‘Omuntu bw'afanga, nga talina baana, muganda we addengawo awase mukazi we, azaalire muganda we abaana.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba nti: “Muyigiriza, Musa yagamba nti: ‘Singa omuntu afa, n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bagamba nti Omuyigiriza, Musa yagamba nti Omuntu bw'afanga, nga talina baana, muganda we addengawo awase mukazi we, azaalire muganda we ezzadde.