Matthew 22:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno mu ffe waaliwo ab'oluganda musanvu: omubereberye yawasa, n'afa nga tazadde mwana; mukazi we n'amulekera muganda we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twalina abooluganda musanvu. Owooluganda ow’olubereberye n’awasa, kyokka n’afa nga tazadde mwana, bw’atyo mukazi we n’afumbirwa muganda we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ewaffe yaliyo ab'oluganda musanvu (7), ow'olubereberye n'awasa, n'afa naye nga tazadde mwana, mukazi we n'amulekera muganda we;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale ewaffe waaliyo abooluganda musanvu. Omubereberye n'awasa. N'afa nga tazadde mwana. Mukazi we n'amulekera muganda we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ewaffe yaliyo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa n'afa, naye nga bw'ataalina zzadde n'alekera muganda we mukazi we;