Matthew 22:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Oyagalanga Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amuddamu nti, “Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amuddamu nti: “Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amagezi go gonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'amugamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna.