Matthew 22:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atuma abaweereza abalala, n'abagamba nti: ‘Mugambe abayitiddwa nti nteeseteese embaga yange, nzise zisseddume zange ko n'ente ensava; byonna biwedde okuteekateeka; mujje ku mbaga.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kabaka n’abatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange n’ente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atuma nate abaddu abalala, ng'agamba nti Mubuulire abantu abaayitibwa nti Laba, nfumbye embaga yange; ente zange n'eza ssava zittiddwa, ne byonna biteegekeddwa; mujje ku mbaga ey'obugole.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“N'atuma nate abaddu abalala ng'agamba nti: ‘Mugambe abaayitibwa nti: Embaga yange ewedde okuteekateeka. Ente zange n'ebyassava ebirala bittiddwa. Era buli kintu kiwedde okutegeka. Mujje ku mbaga ey'obugole.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuma nate abaddu abalala, ng'agamba nti Mubuulire abantu abaayitibwa nti Laba, nfumbye embaga yange; ente zange n'eza ssava zittiddwa, ne byonna byeteeseteese: mujje ku mbaga ey'obugole.