Matthew 22:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama yagamba Mukama wange, nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo” okutuusa abalabe bo lwe ndibassa wansi w'ebigere byo’?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti: “Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo ne mbassa wansi w’ebigere byo?” ’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“‘Mukama yagamba Mukama wange nti’” “‘Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,’” “‘Okutuusa lwe ndissa abalabe bo wansi w'ebigere byo.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Katonda yagamba Mukama wange nti: Tuula ng'onninaanye ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndissa abalabe bo wansi w'ebigere byo?