Matthew 22:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wataba muntu yaguma kumwanukula kigambo; era okuva ku olwo, tewaali n'omu aguma kumubuuza nate.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne wataba n’omu amuddamu, era okuva olwo ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne wataba muntu eyayinza okumuddamu ekigambo, era okuva ku lunaku olwo tewali muntu eyayaŋŋanga okumubuuza ekigambo nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne watabaawo ayinza kumuddamu kigambo. Era okuva olwo tewaaliwo muntu yaguma kwongera kumubuuza kibuuzo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wataba muntu eyayinza okumuddamu ekigambo, era okuva ku lunaku olwo tewali muntu eyayaŋŋanga okumubuuza ekigambo nate.