Matthew 23:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga muggalira abantu obwakabaka obw'omu ggulu; mmwe mwennyini temuyingira, n'abandyagadde okuyingira temubaganya kuyingira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Zibasanze mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo. Bannanfuusi mmwe! Muziyiza abantu abalala okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, ate nammwe ne mutayingira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muggalira obwakabaka obw'omu ggulu mu maaso g'abantu; kubanga mmwe temuyingira, n'abo ababa bayingira temubaganya kuyingira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo! Muli ba kubonaabona! Muggalirawo abantu ababa bayingira Obwakabaka obw'omu ggulu, mmwe mwennyini ne mutayingira, era ne muziyiza n'abo abagezaako okuyingira. [
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi kubanga muggalira obwakabaka obw'omu ggulu mu maaso g'abantu; kubanga mmwe temuyingira, n'abo ababa bayingira temubaganya kuyingira.