Matthew 23:14 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulowoozesa abantu nti muli batuukirivu nga musaba essaala, so ng’ate mwekyusa ne mugobaganya bannamwandu mu mayumba gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! Kubanga munyaga ennyumba za bannamwandu, era ne mwefuula abasaba ennyo; n'olwekyo mulibaako omusango ogusinga obunene.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona, kubanga munyaga ebintu byonna mu mayumba ga bannamwandu, ne musinza Katonda mu bigambo ebingi olw'okweraga. N'olwekyo muliweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.]
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi Kubanga mulya ennyumba za bannamwandu, era ne mwefuula abasaba ennyo: n'olwekyo mulibaako omusango ogusinga obunene.