Matthew 23:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga mutalaaga ennyanja n'olukalu okukyusa omuntu omu mu kiyudaaya, bw'amala okukyuka ne mumusaanyiza Geyenna emirundi ebiri okusinga mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zibasanze bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Kubanga mutambula okwetooloola ennyanja ne ku lukalu musobole okukyusa omuntu, naye bw’akyuka, mumufuula mwana wa ggeyeena okusingawo emirundi ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga mwetooloola mu nnyanja ne ku lukalu okukyusa omuntu omu, abe omugoberezi wammwe naye bwe mumala okumukyusa, mumufuula mwana wa Ggeyeena emirundi ebiri okusinga mmwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga mutambula ennyanja n'olukalu okukyusa omuntu omu, abe omugoberezi wammwe. Kyokka bwe mumala okumukyusa, ne mumufuula asaanira omuliro ogutazikira, n'okusinga mmwe bwe mugusaanira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi kubanga mwetooloola mu nnyanja ne ku lukalu okukyusa omuntu omu naye bw'alabika, mumufuula mwana wa Ggeyeena emirundi ebiri okukira mmwe.