Matthew 23:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe b'amaaso! Mugamba nti: ‘Buli alayidde Ekiggwa, ekyo si kantu, naye alayidde zaabu aweerezebwa Ekiggwa, ateekwa okutuukiriza ky'alayidde.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso abagamba nti, ‘Okulayira Yeekaalu, si nsonga, naye oyo alayira zaabu ali mu Yeekaalu, asaana okukituukiriza!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ziribasanga mmwe, abasaale abazibe b'amaaso, abagamba nti Buli anaalayiranga Yeekaalu, taba na musango; naye buli anaalayiranga ezaabu ey'omu Yeekaalu, ng'azzizza omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muli ba kubonaabona mmwe, abakulembeze bamuzibe! Mugamba nti: ‘Buli alayira Essinzizo, taba na musango bw'atatuukiriza ky'alayidde. Naye buli alayira zaabu ow'omu Ssinzizo, ateekwa okutuukiriza ky'alayidde.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ziribasanga mmwe, abasaale abazibe b'amaaso, abagamba nti Buli anaalayiranga yeekaalu, nga si kintu; naye buli anaalayiranga ezaabu ey'omu yeekaalu, ng'azzizza omusango.