Matthew 23:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Basiru mmwe abazibe b'amaaso! Ekisinga obukulu kiruwa, zaabu, nandiki Ekiggwa ekitukuza zaabu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe abatalina magezi abazibe b’amaaso! Ku ebyo byombi kiruwa ekisingako obukulu, zaabu oba Yeekaalu efuula zaabu okuba entukuvu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe abasiru era abazibe b'amaaso; kubanga ekisinga obukulu kiruwa, ezaabu, oba Yeekaalu efuula zaabu eyo okuba entukuvu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe abasirusiru, era bamuzibe, ekisinga obukulu kiruwa: zaabu, oba Essinzizo erifuula zaabu oyo okuba ekintu ekitukuvu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe abasiru era abazibe b'amaaso; kubanga ekikira obukulu kiruwa, ezaabu, oba yeekaalu etukuza ezaabu?