Matthew 23:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Era mugamba nti: ‘Buli aba alayidde omwaliiro, ekyo si kantu, naye alayidde ekitone ekiriko, ateekwa okutuukiriza ky'alayidde.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate mugamba nti, ‘Omuntu okulayira ekyoto, kirina amakulu, naye bw’alayira ebirabo ebireeteddwa ku kyoto, asaana okukituukiriza!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mugamba nti Omuntu bw'anaalayiranga ekyoto, nga talina musango; naye buli anaalayiranga ekitone ekikiriko, ng'azzizza omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mugamba nti: ‘Buli alayira alutaari, taba na musango bw'atatuukiriza ky'alayidde. Naye buli alayira ekirabo ekiri ku alutaari, ateekwa okutuukiriza ky'alayidde’.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba mugamba nti Omuntu bw'anaalayiranga ekyoto, nga si kintu; naye buli anaalayiranga ekitone ekiriko, ng'azzizza omusango.