Matthew 23:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga ebikopo n'essowaani mubitukuza kungulu, naye nga munda bijjudde obunyazi n'omululu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Muzigula kungulu kw’ekikopo ne kungulu kw’ebbakuli, naye nga munda mujjudde omululu n’okwefaako mwekka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ziribasanga mmwe abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga munaaza kungulu ku kikompe n'ekibya, naye munda mujjudde obunyazi n'obuteegendereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga ebikopo n'ebibya mubinyiriza kungulu, sso nga munda bijjudde ebyo bye mwafuna mu bunyazi ne mu kwefaako mwekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga munaaza kungulu ku kikompe n'ekibya, naye munda mujjudde obunyazi n'obuteegendereza.