Matthew 23:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga mufaanana ng'amalaalo amatukuze n'ennoni, agalabika obulungi kungulu, sso nga munda gajjudde eŋŋumbagumba z'abafu, na buli bujama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulabika ng’amalaalo agatemagana kungulu, songa munda gajjudde amagumba g’abafu n’obuvundu obwa buli ngeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga mufaanana amalaalo agasiigibwa langi enjeru ne gatukula, agalabika kungulu nga ganyiridde, naye munda mujjudde amagumba g'abafu, n'empitambi yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga muli ng'amalaalo agaasiigibwako langi enjeru gatukula, agalabika nga mayonjo kungulu, naye nga munda gajjudde amagumba g'abafu, n'okuwunya obubi kwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi kubanga mufaanana amalaalo agasiigibwa okutukula, agalabika kungulu nga gawoomye, naye munda mujjudde amagumba g'abafu, n'empitambi yonna.