Matthew 23:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nammwe bwe mutyo bwe muli; kungulu abantu mubalabikira ng'abatuukirivu, sso nga munda mujjudde obukuusa n'obugwenyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulabika ng’abantu abatuukirivu kungulu, songa munda mujjudde obunnanfuusi n’obumenyi bw’amateeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mutyo nammwe kungulu mulabika mu bantu nga muli batuukirivu, naye munda mujjudde obunnanfuusi n'obujeemu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mutyo nammwe, kungulu mulabika mu bantu nga muli batuukirivu, sso nga munda mujjudde obukuusa n'obumenyi bw'amateeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe mutyo nammwe kungulu mulabika mu bantu nga muli batuukirivu, naye munda mujjudde obunnanfuusi n'obujeemu.