Matthew 23:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
byonna bye bagamba mubikwate, mubikole, naye temuyisa nga bo bwe bayisa, kubanga bye bagamba bo tebabikola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mukole era mwekuume buli kye babagamba wabula temugoberera bikolwa byabwe. Kubanga boogera naye ne batakola bye bagamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale ebigambo byonna bye babagamba, mubikwate mubikole, naye temukola nga bo bwe bakola; kubanga boogera naye tebakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale byonna bye babagamba mubikwate, era mubikole. Naye temugoberera bikolwa byabwe, kubanga bye bategeeza abantu, bo si bye bakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale ebigambo byonna bye babagamba, mubikole mubikwate: naye temukola nga bo bwe bakola; kubanga boogera naye tebakola.