Matthew 23:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno mwennyini mwerumiriza nga bwe muli abaana ba bali abattanga abalanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mwogera mutyo muba mwessaako omusango nga bwe muli abaana b’abo abatta bannabbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mutyo ne mukakasa mwekka nti muli baana b'abo abatta bannabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mutyo ne mukakasa nti muli bazzukulu b'abo abatta abalanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe mutyo mwetegeeza mwekka nti muli baana baabwe abatta bannabbi.