Matthew 23:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno nzija kubatumira abalanzi, n'ab'amagezi, n'abawandiisi; abamu mujja kubatta mubakomerere ku misaalaba; abalala mujja kubaswanyuulira mu sinaagooga zammwe, mubayigganye okuva mu kibuga ekimu okudda mu kirala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyenva mbaweereza bannabbi, n’abasajja ab’amagezi, n’abawandiisi, abamu mulibatta nga mubakomerera ku musaalaba, n’abalala mulibakuba embooko mu makuŋŋaaniro gammwe, ne mubagobaganya mu bibuga byammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, kyenva mbatumira bannabbi, n'ab'amagezi, n'abawandiisi, n'abamu ku bo mulibatta mulibakomerera; n'abalala mulibakubira emiggo mu makuŋŋaaniro gammwe, mulibayigganya okubaggya mu kibuga ekimu okubazza mu kirala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyenva mbatumira abalanzi n'abantu abagezi era n'abayigiriza: abamu ku bo mulibatta, abalala mulibakomerera ku misaalaba, n'abalala mulibakubira mu makuŋŋaaniro gammwe. Mulibagobaganya okubaggya mu kibuga ekimu okubazza mu kirala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, kyenva mbatumira bannabbi, n'ab'amagezi, n'abawandiisi: n'abamu ku bo mulibatta mulibakomerera; n'abalala mulibakuba emiggo mu makuŋŋaaniro gammwe, mulibayigganya mu byalo byonna: