Matthew 23:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno omusaayi gubaddeko ogw'abatuukirivu gwonna ogwali guyiiyiddwa mu nsi okuviira ddala ku musaayi gwa Abeli ataaliko musango, okutuuka ku musaayi gwa Zakariya mutabani wa Barakiya, gwe mwatemulira wakati w'Ekiggwa n'Omwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mutyo omusango gw’okutemula abatuukirivu, okutandikira ku Aberi omutuukirivu okutuuka ku Zaakaliya, mutabani wa Balakiya gwe mwattira wakati wa yeekaalu n’ekyoto, ne gubasingira ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mulyoke mubuuzibwe omusaayi gwonna ogw'abatuukirivu ogwayiika ku nsi, okusookera ku musaayi gwa Abiri oyo omutuukirivu okutuusa ku musaayi gwa Zaakaliya omwana wa Balakiya, gwe mwattira wakati wa Yeekaalu n'ekyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mulyoke mubuuzibwe omusaayi gw'abatuukirivu bonna ogwayiibwa ku nsi, okuva ku musaayi gwa Abeeli omutuukirivu, okutuuka ku gwa Zakariya, omwana wa Balakiya, gwe mwattira wakati w'ekifo ekitukuvu ne alutaari, mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mulyoke mujjirwe omusaayi gwonna omutuukirivu ogwayiika ku nsi, okusookera ku musaayi gwa Abiri oyo omutuukirivu okutuusa ku musaayi gwa Zaakaliya omwana wa Balakiya, gwe mwattira wakati wa yeekaalu n'ekyoto.