Matthew 23:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Basiba emigugu emizito, egiteetikkika, ne bagissa ku bibegabega by'abantu, sso nga bo tebaagala kuginyeenyako n'akatono na ngalo yaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Basiba emigugu emizito ne bagitikka abalala, so nga bo n’okugezaako tebagezaako kukwatako n’engalo yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era basiba emigugu egizitowa egiteetikkika, bagitikka abantu ku kibegabega; sso nga bo bennyini tebaagala wadde okuginyenyako n'engalo yaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Basiba emigugu emizito, era egiteetikkika, ne balagira abantu okugyetikka ku bibegabega, sso nga bo bennyini tebaagala wadde okuginyeenyaako n'engalo zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era basiba emigugu egizitowa egiteetikkika, bagitikka abantu ku kibegabega; naye bo bennyini tebaagala kuginyeenyaako n'engalo yaabwe.