Matthew 23:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu byonna bye bakola bagenderera abantu babalabe; kyebava beekolera filakiteriya engazi n'ebituttwa ebiwanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Buli kye bakola bakikola abantu babalabe. Bambala ku mikono gyabwe obusawo omuli ennyiriri eziva mu Byawandiikibwa, ne bawanvuya amatanvuuwa ku byambalo byabwe, agajjukiza abagambala okudda eri Mukama, nga babikola okulaga ababalaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebikolwa byabwe byonna babikola, era abantu babirabe, kubanga bagaziya fulakuteri zaabwe, era bongerako n'amatanvuuwa gaabwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Byonna bye bakola, bagenderera kulabibwa bantu. Kyebava bagaziya obusawo obw'amaliba, omuba ebigambo by'omu byawandiikibwa, bwe beesiba mu kyenyi ne ku mikono. Era bagaziya amatanvuwa g'ebyambalo byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebikolwa byabwe byonna babikola era abantu babirabe, kubanga bagaziya fulakuteri zaabwe, era bongerako amatanvuwa,