Matthew 23:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku nsi temubangako na gwe muyita kitammwe, kubanga mulina Kitammwe omu yekka, ali mu ggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era temuyitanga muntu ku nsi kitammwe, kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku nsi temubangako gwe muyita ‘Kitammwe,’ kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era temuyitanga muntu ku nsi kitammwe: kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu.