Matthew 24:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'ava mu Kiggwa; aba agenda, abayigirizwa be ne basembera w'ali okumulaga enzimba y'Ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yali ng’ava mu luggya lwa Yeekaalu, abayigirizwa be ne bajja w’ali okumulaga enzimba ya Yeekaalu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'afuluma mu Yeekaalu; awo bwe yali ng'atambula, abayigirizwa be ne bajja okumulaga amazimba ga Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'ava mu Ssinzizo. Bwe yali ng'agenda, abayigirizwa be ne bajja w'ali, okumulaga enzimba y'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'afuluma mu yeekaalu; yali ng'atambula, abayigirizwa be ne bajja okumulaga amazimba ga yeekaalu: