Matthew 24:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'Evangili eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, ng'obukakafu eri amawanga gonna; olwo nno enkomerero n'eryoka etuuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Enjiri ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, nga bwe bujulirwa eri amawanga gonna n’oluvannyuma enkomerero n’eryoka etuuka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'Enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba obujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n'eryoka etuuka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka galitegeezebwa abantu mu nsi zonna, okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n'eryoka etuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n'eryoka ejja.