Matthew 24:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abaddamu nti: “Ebyo byonna mubirabye? Mazima mbagamba nti wano tewalisigala jjinja liri ku linnaalyo litalisuulibwa wansi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye n’abagamba nti, “Bino byonna temubiraba? Ddala ddala mbagamba nti tewaliba jjinja na limu eririsigala nga litudde ku linnaalyo eritalibetentebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'abaddamu n'abagamba nti, “Temulaba bino byonna? Mazima mbagamba nti Tewalisigala wano jjinja eriri kungulu ku jjinja linnaalyo, eritalisuulibwa wansi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'abaddamu nti: “Bino byonna mubiraba? Mazima mbagamba nti: mu kifo kino tewaliba jjinja na limu lirisigala nga lizimbiddwa ku linnaalyo. Gonna gagenda kusuulibwa wansi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'addamu n'abagamba nti Temulaba bino byonna? mazima mbagamba nti Tewalisigala wano jjinja eriri kungulu ku jjinja eritalisuulibwa wansi.