Matthew 24:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mu nnaku ezo mulibaamu ebibonoobono bingi ebitabangawo okuva mu masooka g'ensi n'okutuusa kati, era tebiribaawo nate.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu biro ebyo waliba ekibonyoobonyo ekinene, era tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga mu nnaku ezo, walibaawo okubonaabona kungi, nga kusinga okulala kwonna okwali kubaddewo, okuviira ddala Katonda lwe yatonda ensi, okutuusa kati. Era tewagenda kuddawo kubonaabona kulala kwenkana awo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga mu biro ebyo waliba ekibonyoobonyo ekinene, nga tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.