Matthew 24:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Amangu ng'ebibonoobono eby'ennaku ezo byakaggwa, enjuba eriddugala, omwezi gulirekayo okwaka, n'emmunyeenye zirigwa okuva ku ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa “kw’omu nnaku ezo kuwedde, ‘enjuba eriggyako ekizikiza era n’omwezi teguliyaka, n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye amangu ago, oluvannyuma lw'ekibonyoobonyo eky'omu nnaku ezo enjuba erikwata ekizikiza, n'omwezi gulirekerawo okwaka, n'emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu nnaku ezo, ekiseera eky'okubonaabona nga kyakaggwa, enjuba erijjako ekizikiza, n'omwezi gulirekayo okwaka, n'emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa, n'amaanyi agali waggulu mu bbanga galinyeenyezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye amangu ago, oluvannyuma lw'ekibonyoobonyo eky'omu nnaku ezo enjuba erifuuka ekizikiza, n'omwezi tegulyolesa musana gwagwo, n'emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa: