Matthew 24:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali atudde ku Lusozi lw'Oliva, abayigirizwa be ne basembera w'ali ebbali yekka, ne bagamba nti: “Tubuulire, ebyo biribeerawo ddi, kaluwa akaliba akabonero k'okujja kwo n'ak'enkomerero y'emirembe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamubuuza mu kyama nti, “Ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akalitegeeza okujja kwo n’enkomerero y’ensi nti eri kumpi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu bwe yali ng'atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa ne bajja gy'ali kyama, ne bagamba nti, “Tubuulire bino we biribeererawo n'akabonero akaliraga okujja kwo bwe kaliba, era n'ak'emirembe gino okuggwaawo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yali ng'atudde ku Lusozi olw'emiti Emizayiti, abayigirizwa ne bajja w'ali mu kyama, ne bagamba nti: “Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akaliraga okujja kwo, n'enkomerero y'ensi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yali atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa ne bajja gy'ali kyama, ne bagamba nti Tubuulire bino we biribeererawo n'akabonero ak'okujja kwo bwe kaliba, n'ak'emirembe gino okuggwaawo?