Matthew 24:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alituma bamalayika be n'okuvuga kw'ekkondeere okw'amaanyi ne bakuŋŋaanya abalonde be okuva mu njuyi ennya, okuva ku nsonda emu ey'eggulu okutuuka ku ndala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olw’eggulu okutuuka ku ludda olulala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era alituma bamalayika be n'eddoboozi ddene ery'ekkondeere, nabo balikuŋŋaanya abalonde be okuva mu mpewo ennya, era n'okuva ku nkomerero y'eggulu emu n'okutuusa ku nkomerero yaalyo endala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eŋŋombe ey'eddoboozi ery'omwanguka erivuga, Omwana w'Omuntu n'atuma bamalayika be mu njuyi zonna ennya ez'ensi. Era balikuŋŋaanya abantu be abalondemu, okuva mu buli kasonda konna ak'ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era alituma bamalayika be n'eddoboozi ddene ery'ekkondeere, nabo balikuŋŋaanya abalonde be mu mpewo ennya, okuva ku nkomerero y'eggulu n'okutuusa ku nkomerero yaalyo.