Matthew 24:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mulabire ku mukunyu; ettabi lyagwo bwe lidda obuto, ne lissaako amakoola, mutegeera ng'obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva ku muti omutiini muguyigireko bino; ettabi lyagwo bwe ligejja, amalagala ne gatojjera, mutegeera ng'obudde bw'ekyeya bunaatera okutuuka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mulabire ku muti omutiini muyige: amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera ne gaddako ebikoola, mumanya nti obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era muyigire ku mutiini olugero lwagwo: ettabi lyagwo bwe ligejja, amalagala ne gatojjera, mutegeera ng'omwaka guli kumpi;