Matthew 24:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kyokka olunaku lwennyini oba akadde tewali abimanyi, newandibadde bamalayika mu ggulu, yadde Mwana, wabula Taata yekka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye eby’olunaku olwo wadde essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika ab’omu ggulu nabo tebakimanyi, wadde Omwana, okuggyako Kitaffe yekka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye eby'olunaku luli n'ekiseera, tewali abimanyi, newakubadde bamalayika ab'omu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye tewali amanyi lunaku lwennyini na ssaawa, ebyo we biribeererawo, newaakubadde bamalayika mu ggulu, wadde nze Omwana, wabula Kitange yekka ye amanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye eby'olunaku luli n'ekiseera tewali abimanyi, newakubadde bamalayika ab'omu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka.