Matthew 24:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'obudde bwa Nowa bwe bwali, bwe guliba ne mu kujja kw'Omwana w'Omuntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, okujja kw’Omwana w’Omuntu nakwo bwe kuliba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa, bwe kityo bwe kiriba mu kujja kw'Omwana w'omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nga bwe kyali mu mulembe gwa Noowa, bwe kityo bwe kiriba ne mu kujja kw'Omwana w'Omuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ng'ennaku za Nuuwa bwe zaali, bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu.