Matthew 24:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe gwali mu nnaku ezaakulembera omujjuzi: abantu baali balya, baali banywa, nga bawasa, nga bafumbiza, okutuusa olunaku Nowa lwe yayingira mu kyombo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe kyali mu biseera by’amataba, abantu nga balya nga banywa, nga bawasa n’abalala nga bafumbirwa, olunaku ne lutuuka Nuuwa n’ayingira mu lyato,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba nga bwe baali ku nnaku ezo ezaasooka nga amataba tegannabaawo, baali nga balya nga banywa, nga bawasa era nga bawayiza, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnaku ezaakulembera omujjuzo, abantu baali balya era nga banywa. Baali bawasa era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Noowa lwe yayingira mu lyato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba nga bwe baali ku nnaku ezo ezaasooka amataba nga balya nga banywa, nga bawasa nga bawayiza, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato,