Matthew 24:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne batamanya, okutuusa omujjuzi lwe gwajja ne gubeerawo bonna, n'okujja kw'Omwana w'Omuntu bwe kuliba bwe kutyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abantu ne batamanya, amataba ne gajja ne gabasaanyaawo ne buli kintu, bwe kutyo n’okudda kw’Omwana w’Omuntu bwe kulibeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne batamanya okutuusa amataba lwe gajja, ne gabasaanyaawo bonna; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batamanya, okutuusa omujjuzo lwe gwajja, ne gubasaanyaawo bonna. Bwe kityo bwe kiriba, Omwana w'Omuntu lw'alijja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne batamanya okutuusa amataba lwe gajja, ne gabatwala bonna; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu.