Matthew 24:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno mutunule, kubanga temumanyi lunaku ki Mukama wammwe lw'alituukirako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo mubeere beetegefu, kubanga olunaku Mukama wammwe lw’aliddirako temulumanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mutunule; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw'alijjirako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale mwerinde, kubanga temumanyi lunaku, Mukama wammwe lw'alijjirako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mutunule; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw'ajjirako.